Isaiah 36:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe munaagamba nti: “Twesiga Mukama Katonda waffe,” si ye oyo Kezekiya gwe yaggyirawo ebifo ebigulumivu n'emyaliiro gye, n'alagira Yuda ne Yeruzaalemu nti: “Ku mwaliiro guno kwe munaasinzizanga?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’onoŋŋamba nti, ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye yali nannyini byoto n’ebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mu maaso g’ekyoto kino we munaasinzizanga’?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'onoŋŋamba nti, “Twesiga Mukama Katonda waffe, si ye wuuyo Keezeekiya gwe yaggyako ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye bw'oŋŋamba nti: ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye wuuyo Heezeekiya gwe yaggyako ebifo bye bamusinzizaamu, era ne zaalutaari ze, Heezeekiya oyo n'agamba abantu b'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu nti: ‘Munaasinzizanga mu maaso ga alutaari eno yokka.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'onoŋŋamba nti Twesiga Mukama Katonda waffe: si ye wuuyo Keezeekiya gwe yaggyako ebifo bye ebigulumivu n'ebyoto bye, n'agamba Yuda ne Yerusaalemi nti Munaasinzizanga mu maaso g'ekyoto kino?