Isaiah 36:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno singawo ne mukama wange kabaka wa Assuri. Nzija kukuwa embalaasi enkumi bbiri singa ggwe oneezuulira abanaazeebagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kale nno Mukama wange Kabaka w’e Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bw’obanga ddala olina abanaazeebagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli nange nnaakuwa embalaasi enkumi bbiri (2,000), bw'obanga ddala olina abanaazeebagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano ka mbasoomoze ku lwa mukama wange kabaka wa Assiriya: nja kukuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe bw'onooyinza okuzuulayo abazeebagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano, nkwegayiridde, muwe emisingo mukama wange kabaka w'e Bwasuli nange naakuwa embalaasi enkumi bbiri, ggwe ku bubwo bw'onooyinza okuzeebagazaako abantu.