Isaiah 36:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Osobola otya okuwangula yadde omugabe asingayo obutene mu baweereza ba mukama wange abasembayo, newandibadde nga weeyinula Misiri olw'ebigaali n'abeebagazi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyinza otya okuwangula omuduumizi asembayo obunafu mu ggye lyaffe, ne bwe weesiga Misiri olw'amagaali n'olw'abeebagala embalaasi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe atasobola na kwaŋŋanga wadde omu ku bakungu asembayo obunafu mu ggye lya mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'abeebagala embalaasi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale oyinza otya okukyusa amaaso g'omwami omu ku abo abasinga obuto ku baddu ba mukama wange, ne weesiga Misiri olw'amagaali n'olw'abeebagala embalaasi?