Isaiah 37:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bino mubigambe Kezekiya kabaka wa Yuda nti: ‘Katonda wo gwe weesiga takuyinula ng'ogamba nti: “Yeruzaalemu tekiweebwe mu mikono gya kabaka wa Assuri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng’ayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mugambe Keezeekiya kabaka wa Yuda nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mugambe Heezeekiya, kabaka wa Buyudaaya nti: ‘Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'agamba nti Yerusaalemu tekirigabulwa mu mikono gya kabaka wa Assiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo bwe muligamba Keezeekiya kabaka wa Yuda nga mwogera nti Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ng'ayogera nti Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli.