Isaiah 37:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe wennyini weewulirira bakabaka ba Assuri bye baakola ensi zonna, nga bwe baazisaanyaawo. Ggwe onoowona?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba wawulira bakabaka b’e Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, owulidde bakabaka b'e Bwasuli bye baakolanga ensi zonna, nga bazizikiririza ddala, mwe munaawona?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndowooza wawulira bakabaka b'e Assiriya kye baakola ensi zonna, ze baasalawo okuzikiririza ddala. Ggwe onoowona?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, owulidde bakabaka b'e Bwasuli bye baakolanga ensi zonna, nga bazizikiririza ddala: naawe oliwonyezebwa?