Isaiah 37:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ayi Mukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, awaŋŋamye wakati mu bakerubi, wekka ggwe Katonda afuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe wakola eggulu n'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, atuula wakati mu bakerubbi, ggwe Katonda wekka afuga obwakabaka bwonna obw’omu nsi, ggwe wakola eggulu n’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ Ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka afuga obwakabaka bwonna obw'omu nsi, ggwe wakola eggulu n'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ayi Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, atuula ku bakerubi, Ggwe wekka Ggwe Katonda. Ggwe wekka, Ggwe ofuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe wakola eggulu n'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, atuula ku bakerubi, ggwe Katonda, ggwe wekka, wa bwakabaka bwonna obw'omu nsi; ggwe wakola eggulu n'ensi.