Isaiah 37:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yasindika ewa Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi Eliyakimu katikkiro w'olubiri, ne Sebuna omuwandiisi na bonna abakulembera mu bakabona, nga bambadde ebikutiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atuma Eliyakimu eyali alabirira olubiri lwa kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, n'abamu ku bakabona abakulu, nga bambadde ebikutiya, ne bagenda eri Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'atuma Eriyakimu eyali omukulu w'ennyumba ne Sebuna omuwandiisi n'abakadde ab'oku bakabona, nga bambadde ebibukutu, eri Isaaya nabbi mutabani wa Amozi.