Isaiah 37:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mikono gye, buli bwakabaka bwonna obw'ensi bumanye nti wekka, ayi Mukama, ggwe Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwa Sennakeribu, obwakabaka bwonna obw’ensi butegeere nga ggwe wekka ggwe Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno kaakano, ayi Mukama, Katonda waffe, ggwe tuwonye, otuggye mu mikono gya kabaka wa Assiriya, ab'amawanga gonna ku nsi balyoke bamanye nga Ggwe wekka, ayi Mukama, Ggwe Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano, ai Mukama Katonda waffe, tulokole mu mukono gwe, obwakabaka bwonna obw'omu nsi butegeere nga ggwe Mukama, ggwe wekka.