Isaiah 37:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya mutabani wa Amozi n'aweereza Kezekiya obubaka ng'agamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Olw'essaala gy'osabye gye ndi ku lwa Sennakeribu kabaka wa Assuri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n’atumira Keezeekiya ng’ayogera nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaya mutabani wa Amozi n'atumira Heezeekiya ng'agamba nti: “Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nga bw'onneegayiridde ku bikwata ku Sennakeribu kabaka wa Assiriya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isaaya mutabani wa Amozi n'atumira Keezeekiya ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga onneegayiridde ebya Sennakeribu kabaka w'e Bwasuli,