Isaiah 37:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyise mu baweereza bo n'ovuma Omukama. N'ogamba nti: “N'enkumuliitu y'ebigaali byange mpalampye entikko z'ensozi, mu masosso ga Lebanoni. Natema entolookyo zaakwo empagguufu, ne sipulaasi waakwo omulungi. Nakyesonseka okutuuka gye kikoma ekibira gye kibisse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okozesezza abaddu bo okuvuma Mukama n’oyogera nti, Nyambuse n’amagaali gange amangi ku ntikko y’olusozi, ntuuse ku njuyi ez’omunda eza Lebanooni; era ntemedde ddala emivule gyakwo emiwanvu, n’enfugo zaakwo ezisinga obulungi, era natuuka ne ku lusozi lwakwo olukomererayo, ekibira kyayo ekisinga obunene.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okozesezza abaddu bo okuvuma Mukama n'oyogera nti N'amagaali gange amangi nnyambuse ku ntikko y'olusozi, ntuuse mu njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu, n'enfugo zaako ezisinga obulungi: era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo, ekibira eky'ennimiro ye engimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Otumye ababaka bo okunjerega Nze Afugabyonna, nga weewaana nga bwe wakozesa amagaali go n'owangula entikko z'ensozi z'e Lebanooni. Weewaanye nti eyo watemayo emivule egisinga obuwanvu, n'emiberosi egisinga obulungi, era nti watuukira ddala ku lusozi olukomererayo, mu kibira ekisingayo okuba ekikwafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyimye mu baddu bo okuvuma Mukama n'oyogera nti N'amagaali gange amangi nnyambuse ku ntikko y'olusozi, ntuuse mu njuyi ez'omunda eza Lebanooni; era nditemera ddala emivule gyako emiwanvu, n'enfugo zaako ezisinga obulungi: era ndituuka ku lusozi lwako olukomererayo, ekibira eky'ennimiro ye eŋŋimu.