Isaiah 37:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nasima enzizi ne nnywa amazzi; n'ebigere byange ne nkaza emigga gyonna egy'e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waduula nti wasima enzizi era n’onywa n’amazzi mu mawanga era nti ebigere by’abajaasi bo byakaliza amazzi g’omugga Kiyira mu Misiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nsimye enzizi, era nnywedde amazzi, era nnakaliza emigga gyonna egy'e Misiri n'ebigere byange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weetenze bwe wasima enzizi, n'onywa amazzi, era nti ebigere by'abaserikale bo byakaza emigga gyonna egy'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nsimye era nnywedde amazzi, era ndikaliza emigga gyonna egy'e Misiri n'ebigere byange: