Isaiah 37:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Towuliranga nti nakitegeka kuva dda? Obwedda n'obwedda nga nkitegeka. Kati nkituukirizza: Nti ojja kuzikiriza ebibuga okuli ebigo bifuuke ntuumu za mayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tewawulira nga nakisalawo dda? Nakiteekateeka dda. Mu biro eby’edda nakiteekateeka; era kaakano nkituukirizza, olyoke ofuule ebibuga ebiriko bbugwe okuba ng’entuumo y’amayinja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Towuliranga bwe nnakikola edda ennyo ne nkibumba okuva ebiro eby'edda? kaakano nkituukirizza ggwe okubeera omuzikiriza w'ebibuga ebiriko enkomera obifuule ebifunvu eby'ebyagwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“ ‘Tewakiwulirako nti Nze nategeka ebyo byonna edda? Era kaakano mbituukirizza. Nakuwa obuyinza, ebibuga ebiriko ebigo ebigumu okubifuula entuumu z'ebisasiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Towuliranga bwe nnakikola edda ennyo ne nkibumba okuva ebiro eby'edda? kaakano nkituukirizza ggwe okubeera omuzikiriza w'ebibuga ebiriko enkomera obifuule ebifunvu eby'ebyagwa: