Isaiah 37:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababibeeramu obuyinza bubawedde; batekemuse, baswadde. Bafuuse ng'omuddo gw'ettale, ng'omuddo ogwakamera, ng'essubi ly'oku kasolya, erikala nga terinnakula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baamu kyebaavanga baggwaamu amaanyi, ne baterebuka ne bakeŋŋentererwa ne baba ng’essubi mu nnimiro, ng’omuddo omuto, ng’omuddo ogumera ku nnyumba ogwokebwa ne gufa nga tegunnakula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaabituulangamu kyebaava babeera ab'amaanyi amatono, baatekemuka ne bakeŋŋentererwa; ne baba ng'essubi ery'omu nnimiro era ng'omuddo omubisi, ng'omuddo oguli waggulu ku nnyumba, era ng'omusiri gw'eŋŋaano nga tennakula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaabirimu kyebaava baggwaamu amaanyi, ne batekemuka, ne bakeŋŋentererwa, ne baba ng'essubi ery'omu ttale, era ng'omuddo ogumeze waggulu ku nnyumba, era ng'eŋŋaano ekaze nga tennakula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)