Isaiah 37:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera obusungu bw'onninako, nga n'okwekuza kwo kutuuse mu matu gange, kale nno nzija kussa empeta mu nnyindo zo n'eddobo mu kamwa ko, nkuddizzeeyo mu kkubo mwe wafuluma ng'ojja.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga oneereegeddeko, okwepanka kw’okoze nkutuuseeko. Era kaakano ntuuse okuteeka eddobo mu nnyindo zo, n’oluuma ndufumite mu mimwa gyo, nkuzzeeyo ng’opaala mu kkubo lye wajjiramu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga onneesalirako akajegere era kubanga ettitimbuli lyo lintuuseko, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmaze okuwulira eddalu lyo, n'okwekulumbaza kwo. Kaakano nja kuteeka eddobo lyange mu nnyindo zo, n'olukoba lwange mu kamwa ko, nkuddizeeyo mu kkubo lye wayitamu ng'ojja.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga onneesalirako akajegere era kubanga ettitimbuli lyo lirinnye mu matu gange, kyendiva nteeka eddobo lyange mu nnyindo yo n'olukoba lwange mu mimwa gyo, era ndikuzzaayo mu kkubo lye wajjiramu.