Isaiah 37:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamugamba nti: “Kezekiya kino ky'agamba: ‘Luno olunaku lwa buyinike, lwa kugugumbulwa, lwa nsonyi ng'abaana abatuuse ku kuzaalibwa naye nga temuli twanyi tubazaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti, “Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye tewali maanyi ga kubazaala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamugamba nti: “Heezeekiya agamba nti: ‘Olunaku luno, lunaku lwa kubonaabona: tubonerezeddwa, era tuswaziddwa. Tuli ng'omukazi atuusizza okuzaala, kyokka nga talina maanyi ga kuzaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Keezeekiya nti Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kunenyezebwamu era lwa kuvumirwamu: kubanga abaana batuuse okuzaalwa, so tewali maanyi ga kuzaala.