Isaiah 37:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kati ggwe, Kezekiya, kano ke kabonero kw'onoolabira: “Mu mwaka guno ojja kulya ebyemeza byokka; mu mwaka ogwokubiri olye ebimererezi. Naye mu gwokusatu musige, mukungule, musimbe emizabbibu, mulye ebibala byakwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Kano ke kabonero akanaakuweebwa: Omwaka guno mugenda kulya eŋŋaano eyeemeza yokka. Eno gye muliryako n’omwaka ogwokubiri. Mu mwaka ogwokusatu mulirya ku birime byammwe bye musize era ne mukungula mu nnimiro zammwe ez’emizabbibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaya n'agamba Keezeekiya nti, “Kano ke kabonero gy'oli, mu mwaka guno munaalya eŋŋaano eyeemeza yokka, ne mu mwaka ogwokubiri era eyeemeza yokka. Mu mwaka ogwokusatu mulirya ebyo bye musize, era ne mukungula mu nsuku zammwe ez'emizabbibu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaya n'agamba Heezeekiya nti: “Kano ke kanaaba akabonero akakulaga nga bye ŋŋambye bijja kutuukirira: mu mwaka guno ne mu mwaka ogujja, mujja kulya mmere ya kyemeza. Naye mu mwaka oguddako, mulisiga emmere yammwe ne mugikungula. Mulisimba ennimiro z'emizabbibu, ne mulya ebibala byamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kano ke kaliba akabonero gy'oli: mulirya mu mwaka guno ekyo ekimera kyokka, ne mu mwaka ogw'okubiri ekyo kye gumera; ne mu mwaka ogw'okusatu musiganga mukungulanga musimbanga ensuku z'emizabbibu mulyanga ebibala byamu.