Isaiah 37:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kaawonawo asumattuse mu nnyumba ya Yuda alisimba emirandira wansi, n'assaako ebibala waggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Yuda abalifikkawo baliba ng’ebisimbe emirandira gyabyo nga gikka wansi ate nga bigimuka ne bibala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekitundu ekisigaddewo ku nnyumba ya Yuda balisimba emirandira wansi ne babala ebibala waggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaliwonawo mu Buyudaaya, balyanya ng'ebimera ebisimba emirandira gyabyo wansi mu ttaka, ne bibala ebibala waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekitundu ekifisseewo ekiwonye ku nnyumba ya Yuda balisimba emmizi wansi ne babala ebibala waggulu.