Isaiah 37:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mu Yeruzaalemu mulivaamu abalisigalawo, ne ku lusozi Siyoni bakaawonawo abasumattuse. Okutakabana kw'Omukama w'Amagye kwe kulikola ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Yerusaalemi walibaawo abalisigalawo ne ku Lusozi Sayuuni walibeerawo abaliwona, kubanga Mukama Ayinzabyonna mu bumalirivu bwe, yeewaddeyo okukikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu Yerusaalemi mulibamu abalisigalawo, ne ku lusozi Sayuuni walibaayo abaliwona, obumalirivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wajja kubaawo abawonawo mu Yerusaalemu ne ku Lusozi Siyooni. Mukama Nnannyinimagye amaliridde ekyo okukituukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu Yerusaalemi muliva ekitundu ekifisseewo, ne ku lusozi Sayuuni abo abaliwona: obuggya bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo.