Isaiah 37:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kkubo eryamuleeta mw'aliddirayo; ekibuga kino talikiyingira;’ bw'agambye Omukama,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkubo lye yajjiramu lye limu ly’anaakwata okuddayo. Tajja kuyingira mu kibuga kino,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka mu kibuga kino, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kkubo mwe yayita ng'ajja, era mw'aliddirayo, nga tayingidde mu kibuga kino. Nze Mukama, njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kkubo mwe yajjira omwo mw'aliddirayo, so talituuka ku kibuga kino, bw'ayogera Mukama.