Isaiah 37:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kiro ekyo kyennyini, malayika w'Omukama yagenda mu lusiisira lw'Abassuri n'attamu abasajja akasiriivu kamu mu emitwalo munaana mu enkumi ttaano. Abantu bwe baazuukuka ku makya, bonna nga mirambo, bafu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika wa Mukama n'afuluma n'atta mu lusiisira olw'Abaasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano (185,000). Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ekiro ekyo, malayika wa Mukama n'agenda n'atta mu lusiisira lw'Abassiriya abaserikale emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Enkeera ku makya, abo bonna nga bafu bajjo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo malayika wa Mukama n'afuluma n'atta mu lusiisira olw'Abaasuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe baagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu.