Isaiah 37:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oboolyawo ng'Omukama Katonda wo awulidde ebigambo byonna eby'omusenero omukulu, mukama we kabaka wa Assuri gw'atumye okuvuma Katonda omulamu. Oboolyawo Omukama Katonda wo anaabonereza ebigambo by'awulidde. Kale nno sabira kaawonawo akyasigaddewo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka w’e Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n’amunenya olw’ebigambo by’awulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, eyatumibwa kabaka w'e Bwasuli okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo n'amunenya olw'ebigambo by'awulidde; kale waayo okusaba olw'e ekitundu ekikyasigaddewo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Assiriya atumye omukungu we omukulu, okujerega Katonda Nnannyinibulamu. Oboolyawo Mukama, Katonda wo, anassaayo omwoyo ku bigambo byonna omukungu oyo by'ayogedde, n'amukangavvula olw'ebigambo ebyo, Ye Mukama, Katonda wo by'awulidde. Kale sabira abantu baffe abakyasigaddewo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpozzi Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake, kabaka w'e Bwasuli mukama we gw'atumye okuvuma Katonda omulamu, n'anenya ebigambo Mukama Katonda wo by'awulidde: kale yimusiza okusaba kwo ekitundu ekifisseewo.