Isaiah 37:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya n'abagamba nti: “Kino kye munaagamba mukama wammwe: ‘Omukama kino ky'agamba: Leka kutya bigambo by'owulidde, ebyo obulenzi bwa kabaka wa Assuri bye bunvumye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaya n’abagamba nti, “Mutegeeze mukama wammwe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ebigambo by’owulidde abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye, tebikutiisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaya n'abagamba nti, “Mugambe mukama wammwe nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde, abaddu ba kabaka w'e Bwasuli bye banvumye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaya n'abagamba nti: “Mugende mugambe mukama wammwe nti Mukama agamba nti: ‘Totya bigambo by'owulidde, nga banjerega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaya n'abagamba nti Bwe mutyo bwe munaagamba mukama wammwe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Totya bigambo by'owulidde, abaddu ba kabaka w’e Bwasuli bye banvumye.