Isaiah 37:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, nzija kumussaamu omwoyo nti olunaawulira olugambo, ng'addayo mu nsi ye; eyo mu nsi gye nnaamukubira n'ekitala.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndimusaamu omwoyo awulire olugambo addeyo mu nsi ye, era eyo gye ndimuttira n'ekitala mu nsi ye.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba, nja kusindika omwoyo mu ye, bw'anaawulira olugambo, addeyo mu nsi ye, era nja kumuleetera okuttirwayo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndimuteekako omuzimu, naye aliwulira olugambo n'addayo mu nsi ye; era ndimusuula n'ekitala mu nsi ye ye.