Isaiah 37:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusenero omukulu n'addayo, kubanga yali awulidde nti kabaka wa Assuri yali avuddeyo mu Lakisi; yasanga kabaka wa Assuri alumbye Libuna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, n’asanga kabaka w’e ng’alwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde nti avudde e Lakisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukungu oyo Omussiriya n'awulira nga kabaka w'ewaabwe avudde e Lakisi, era ng'alwanyisa ab'omu Kibuga Libuna, n'agenda gy'ali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Labusake n'addayo n'asanga kabaka w'e Bwasuli ng'alwana ne Libuna: kubanga yali awulidde nga yasitula e Lakisi.