Isaiah 37:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sennakeribu yali awulidde nti: “Tiruwaka kabaka w'e Kuusi asitudde, ajja okukutabaala,” n'asindika ababaka ewa Kezekiya ng'abagambye nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era kabaka Sennakeribu n’afuna obubaka nti Tiraaka kabaka w’e Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira n’asindika ababaka eri Keezeekiya n’obubaka buno nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate era n'awulira nga boogera nti Tiraka kabaka w'e Kuusi, azze okumulwanyisa. Awo bwe yakiwulira n'atuma ababaka eri Keezeekiya ng'ayogera nti
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka wa Assiriya bwe baamubuulira nti: “Tiraka kabaka wa Etiyopiya wuuli asitudde eggye okukulwanyisa,” n'addamu okutumira Heezeekiya ababaka ng'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'awulira nga boogera ebya Tiraka kabaka w'e Kuusi, nti Atabadde okulwana naawe. Awo bwe yakiwulira n'atuma ababaka eri Keezeekiya ng'ayogera nti