Isaiah 38:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo Kezekiya yalwala, n'ajula okufa. Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Tereeza eby'ennyumba yo kubanga ojja kufa, tojja kulama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku ezo Keezeekiya n'alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa, so togenda kulama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu biseera ebyo, Heezeekiya n'alwala nnyo kumpi kufa. Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi, n'agendayo okumulaba, n'amugamba nti: “Mukama akugamba nti: ‘Teekateeka eby'omu maka go, kubanga ogenda kufa, tojja kulama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n’amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama.