Isaiah 38:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye kiwandiiko kya Kezekiya kabaka wa Yuda bwe yassuuka mu bulwadde bwe: “Nagamba nti mu buvubuka bw'obulamu bwange ndi wa kusitula; nsibiddwa ku miryango gy'emagombe emyaka gyange gyonna egisigadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe, nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Mu ttuntu ly'ennaku zange mwe ndigendera mu miryango gy'emagombe, Nzigiddwako emyaka gyange egisigaddeyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nali ŋŋamba nti ŋŋenda kufiira mu myaka egyawakati egy'obulamu bwange, nzigyibweko egikyasigaddeyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mu ttuntu ly'ennaku zange mwe ndigendera mu miryango gy'emagombe: Nzigiddwako emyaka gyange egisigaddeyo.