Isaiah 38:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti sigenda kulaba Mukama Katonda mu nsi y'abalamu, siriddayo kulaba muntu n'omu n'abo abali mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka njogera nti, “Sigenda kuddayo kulaba Mukama, mu nsi y’abalamu. Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, Siriraba Mukama, mu nsi y'abalamu. Siriraba bantu nate mu nsi mwe batuula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali ŋŋamba nti olwo nkomye okulaba Mukama mu nsi y'abalamu, siriddayo na kulaba bantu abagyeyagaliramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Siriraba Mukama, Mukama mu nsi y'abalamu: Siriraba bantu nate wamu n'abatuula mu nsi.