Isaiah 38:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisulo kyange akyabizza n'akinzigyako, kyenkana nga weema y'omusumba; nzinzeeko obulamu bwange ng'omulusi, ansaze ku wuzi; okuva ku makya okutuukira ddala ekiro owumbako obulamu bwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obulamu bwange buzingiddwako ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako. Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira, bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange obumalirawo ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebiro byange bivuddewo, era binzigiddwako ng'eweema ey'omusumba; Nzinze obulamu bwange ng'omulusi w'engoye; alinsala ku muti ogulukirwako: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulamu bwange buvuddewo, era bunzigyiddwako ng'eweema y'omusumba. Obulamu bwange buzingiddwako ng'olugoye ku kyalaani ky'omutunzi. Okuva ku makya okuzibya obudde, nzigweramu ddala amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebiro byange bivuddewo, era binzigiddwako ng'eweema ey'omusumba: Nzinze obulamu bwange ng'omulusi w'engoye; alinsala ku muti ogulukirwako: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.