Isaiah 38:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndaajana okutuusa ku makya; amagumba gange gonna agabwatudde ng'empologoma; okuva ku makya okutuukira ddala ekiro owumbako obulamu bwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba, ekiro n’emisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkabira obuyambi okukeesa obudde, ng'empologoma, bw'amenya bw'atyo amagumba gange gonna; Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsula nsinda okukeesa obudde, ng'aliibwa empologoma emeketa amagumba gange gonna. Emisana n'ekiro kyonna Katonda ali ng'ansaanyaawo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Neesirisa okutuusa enkya; ng'empologoma, bw'amenya bw'atyo amagumba gange gonna: Okuva enkya okutuusa ekiro olimmalirawo ddala.