Isaiah 38:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkaaba ng'akataayi oba nga ssekanyolya, nsindogoma ng'ejjiba; amaaso gange gakooye olw'okulalamira eggulu. Ayi Mukama, nnyigiriziddwa, jjangu onneeyimirire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi, n’empuubaala ng’enjiibwa, amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu. Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'akataayi oba ssekanyolya, bwe ntyo bwe nnawanjaga; Nnempuubaala nga kaamukuukulu; amaaso gange gafuuyirira olw'okulalama; Ayi Mukama, njoogebwa; ggwe beera muyima wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabeeranga awo ne nsinda ng'ekinyonyi. Amaaso ne ganfuuyirira nga ntunuulira eyo waggulu. Ayi Mukama, mpuubadde! Ggwe jjangu onnyambe!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'akataayi oba sekanyolya, bwe nnavulungutana bwe ntyo; Nawuubaala nga kaamukuukulu: amaaso gange gafuuyirira olw'okulalama; Ai Mukama, njoogebwa; ggwe beera muyima wange.