Isaiah 38:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ye nno njogere ki? Ayogedde nange, ye yennyini kino y'akikoze. Nzija kutambulanga nga neewombeese emyaka gyange gyonna olw'okunyolwa mu mutima gwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ate nga naagamba ki? Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze. N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno obw’obulamu bwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naayogera ntya? Yayogedde nange era ye yennyini ye akikoze: Nnaatambulanga mpola emyaka gyange gyonna olw'okubalagalwa kw'obulamu bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali sirina bigambo biddamu akiragidde, ng'era yennyini ye akikoze. Emyaka gyange gyonna natambulanga kasoobo nga kiva mu kwennyamira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naayogera ntya? yayogedde nange era ye yennyini ye akikoze: Naatambulanga mpola emyaka gyange gyonna olw'okubalagalwa kw'obulamu bwange.