Isaiah 38:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, abantu babeera balamu olw'ebintu bino, n'omwoyo gwange gubisangamu obulamu. Mponya obulwadde, mpa mbeere mulamu nate.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu, era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu. Omponye, mbeere mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, olw'ebyo abantu baba balamu, Era mu ebyo mwokka mwe muli obulamu bw'omwoyo gwange; Kale mponya onnamye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama mu ebyo abantu mwe baggya obulamu, era mu ebyo byonna nange mwe nzigya obulamu. Ayi Mukama mponya, mbe omulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, olw'ebyo abantu baba balamu, Era mu ebyo mwokka mwe muli obulamu bw'omwoyo gwange: Kale mponya onnamye.