Isaiah 38:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nagwa mu buyinike lwa bulungi bwange; wabula omwoyo gwange waguwonya obunnya obw'okuzikirira, kubanga ebibi byange byonna obikasuse enkoto.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange, naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira. Kubanga otadde ebibi byange byonna emabega wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, olw'emirembe gyange kyennava mbalagalwa ennyo; Naye ggwe olw'okwagala obulamu bwange obuwonyezza mu bunnya obuvundirwamu; Kubanga osudde ebibi byange byonna emabega wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala kyangasa okunakuwala. Naye Ggwe, olw'okunjagala, omponyezza omugo gw'entaana, kubanga onsonyiye ebibi byange byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, olw'emirembe gyange kyennava mbalagalwa ennyo: Naye ggwe olw'okwagala obulamu bwange obuwonyezza mu bunnya obuvundirwamu; Kubanga osudde ebibi byange byonna ennyuma w'amabega go.