Isaiah 38:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alindokola, olwo tunaayimbanga ku bivuga eby'enkoba obulamu bwaffe bwonna mu Kiggwa ky'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama alindokola, kyetunaavanga tuyimba ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe, mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yeeteeseteese okundokola, Kyetunaavanga tuyimbira ku bivuga eby'enkoba Ennaku zonna ez'obulamu bwaffe mu nnyumba ya Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omponyezza, ayi Mukama. Kale tunaakuyimbiranga mu bulamu bwaffe bwonna nga bwe tukuba n'ennanga mu Ssinzizo lyo, ayi Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama yeeteeseteese okundokola: Kyetunaavanga tuyimbira ennyimba zange mu nnanga Ennaku zonna ez'obulamu bwaffe mu nnyumba ya Mukama.