Isaiah 38:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya yali abuuzizza nti: “Kabonero ki kwe nnaategeerera nti nnaayambuka mu nnyumba y'Omukama?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Keezeekiya yali abuuzizza nti, “ Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne nyambuka mu nnyumba ya Mukama?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Heezeekiya yali abuuzizza nti: “Kabonero ki akalaga nga ndyambuka mu Ssinzizo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Keezeekiya yali ayogedde nti Kaluwa akabonero nga ndyambuka mu nnyumba ya Mukama?