Isaiah 38:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nkwegayiridde, ayi Mukama, jjukira nga bwe natambulira mu maaso go mu butuufu n'omutima ogukwemalizza, nga nkola ekyo kyokka ekikusanyusa.” Kezekiya n'akaaba nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Jjukira kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi.” Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ayi Mukama, nkwegayiridde, jjukira bwe mbadde omwesigwa mu maaso go, nga nkugondera n'omutima gwange gwonna, era nga nfuba bulijjo okutuukiriza by'osiima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.