Isaiah 38:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ddayo ogambe Kezekiya nti: ‘Kino ky'agamba Omukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi: Mpulidde essaala yo, ndabye n'amaziga go; ku bulamu bwo nzija kwongerako emyaka kkumi n'etaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go, laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano (15).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ddayo ogambe Heezeekiya nti: ‘Mukama, Katonda wa Dawudi jjajjaawo, agamba nti: Mpulidde ky'osabye, era ndabye amaziga go. Kale nja kwongera ku bulamu bwo emyaka kkumi n'etaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda ogambe Keezeekiya nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda wa Dawudi kitaawo, nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano.