Isaiah 38:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kulagira ekisiikirize enjuba ky'ebadde ekoze ng'ekkirira kidde emabega amadaala kkumi ku madaala ga Akazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, nzijja kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi (10) enjuba bw'eneeba egwa, ky'eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw'etyo enjuba n'edda emabega amadaala kkumi (10) ku madaala ge yali ekkiddeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ekisiikirize ekiri ku ssaawa ya Ahazi, ekikolera ku njuba nga bw'egenda, ajja kukizza emabega ebbanga lya madaala kkumi.” Awo enjuba n'eddayo emabega ebbanga lya madaala kkumi, ku madaala g'essaawa ge yali emaze okukkirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, nazzaayo ennyuma ekisiikirize ekiri ku madaala, ekikkidde ku madaala ga Akazi awamu, n'enjuba, ebbanga ery'amadaala ekkumi. Awo enjuba n'eddayo ebbanga ery'amadaala ekkumi ku madaala ge yali ekkiddeko.