Isaiah 39:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Merodaki-Balaadani mutabani wa Balaadani kabaka w'e Babiloni yaweereza ebbaluwa n'ekirabo ewa Kezekiya, kubanga yali awulidde ku kulwala n'okuwona kwa Kezekiya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu kiseera ekyo, Merodakubaladani mutabani wa Baladani, kabaka w'e Babbulooni, n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira nga yali alwadde era ng'awonye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biseera ebyo Merodaki Baladani, kabaka wa Babilooniya, era mutabani wa Baladani, n'awulira nga Heezeekiya bwe yali alwadde, era nga bwe yali awonye. N'amuwandiikirayo ebbaluwa, n'agimuweereza wamu n'ekirabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Merodakubaladani mutabani wa Baladani, kabaka w'e Babulooni, n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira nga yali alwadde era ng'awonye.