Isaiah 39:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya yayaniriza ababaka, n'abalaga byonna ebyali mu nnyumba ye ey'enkuluze: ffeeza, zaabu, ebirungo, emizigo egy'akaloosa, ennyumba y'ebyokulwanyisa, ne byonna ebyasangibwa mu nkuluze ye. Tewali na kimu mu lubiri lwe oba wonna mu bwakabaka bwe Kezekiya ky'ataabalaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Keezeekiya n'abasanyukira, n'abalaga ennyumba ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza ne zaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi, n'ennyumba yonna ey'eby'okulwanyisa bye. Tewaali kya bugagga ekyali mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Heezeekiya n'asanyukira nnyo abaabireeta, n'abalaga ebyobugagga bwe byonna mu nnyumba ye ey'eggwanika: ffeeza ne zaabu, n'ebyakaloosa, n'omuzigo ogw'omuwendo ennyo, n'ennyumba mw'atereka ebyokulwanyisa bye, ne byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu lubiri lwe, wadde mu bwakabaka bwe bwonna ky'ataabalaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Keezeekiya n'abasanyukira, n'abalaga ennyumba ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza ne zaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi, n'ennyumba yonna ey'eby'okulwanyisa bye, ne byonna ebyalabika mu bugagga bwe: tewaali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.