Isaiah 39:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya omulanzi n'ajja ewa kabaka Kezekiya n'amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, ye bavudde wa okujja gy'oli?” Kezekiya n'amuddamu nti: “Bavudde mu nsi ya wala, bavudde Babiloni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?” Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti, “Abasajja bano boogedde ki? Era baava wa okujja gy'oli?” Keezeekiya n'amuddamu nti, “Bava mu nsi ey'ewala e Babbulooni.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaya omulanzi n'ajja eri Kabaka Heezeekiya, n'amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, era bavudde wa okujja gy'oli?” Heezeekiya n'addamu nti: “Bavudde mu nsi ya wala okujja gye ndi. Bavudde Babilooniya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isaaya nabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti Abasajja bano boogedde ki? era baava wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'ayogera nti Bava mu nsi ya wala okujja gye ndi, baava e Babulooni.