Isaiah 39:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya n'amubuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Kezekiya n'amuddamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye; mu nkuluze yange mpaamu kye sibalaze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” Keezeekiya n'addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'amubuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Heezeekiya n'addamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye. Tewali kintu na kimu ku byobugagga bwange kye sibalaze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogera nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu bugagga bwange kye ssibalaze.