Isaiah 39:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kale nno ennaku zijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka n'okutuusa ku lunaku lwa leero bitwalibwe e Babiloni; tewalisigalawo kantu,’ Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babbulooni, tewaliba kintu ekirisigalawo, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Manya ng'ekiseera kijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo, n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuuka kati, bitwalibwe e Babilooniya. Tewaliba na kimu kirisigala.’ Bw'atyo Mukama bw'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bakitaawo bye baaterekanga okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni: tewaliba kintu ekirisigalawo, bw'ayogera Mukama.