Isaiah 39:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘N'abamu ku zzadde lyo, bennyini abafuluma mu ggwe, be weezaalidde, balitwalibwa ne bafuuka abalaawo mu lubiri lwa kabaka w'e Babiloni.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abamu ku batabani bo, b'ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w'e Babbulooni ne balaayibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘N'abamu ku b'ezzadde lyo abasibukira ddala mu ggwe, balitwalibwa ne balaayibwa, baweerezenga mu lubiri lwa kabaka wa Babilooniya.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku batabani bo abaliva mu ggwe b'olizaala balibatwalako; era baliba balaawe mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni.