Isaiah 39:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo ky'Omukama ky'oyogedde kirungi.” Anti muli yali agamba nti: “Mu budde bwange liriba ddembe na butebenkevu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi,” kubanga yalowooza nti, “kasita emirembe n'obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ekyo Heezeekiya n'ategeeramu nti walibaawo emirembe n'obutebenkevu mu kiseera ky'obulamu bwe. N'olwekyo n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde, kirungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi. Era n'ayogera nti Kavuna wanaabanga emirembe n'amazima mu mirembe gyange.