Isaiah 4:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo abakazi musanvu balikwata omusajja omu, ne bagamba nti: “Tujja kweriisanga, era tuneeyambazanga; kyokka ka tuyitibwenga erinnya lyo, tuggyeeko obuswavu bwaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti, Tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume. Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze n’ebyokwambala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu, nga bagamba nti, “Ffe tuneenoonyezanga emmere n'eby'okwambala, naye kkiriza tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume eky'obutafumbirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu, nga bagamba nti: “Ffe tuneenoonyezanga ebyokulya n'ebyokwambala, naye kkiriza tuyitibwenga bakyala bo, otuwonye okuswala olw'obutafumbirwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu ku lunaku luli, nga boogera nti Tunaalyanga emmere yaffe ffe, era tunaayambalanga ebyambalo byaffe ffe: kyokka tutuumibwe erinnya lyo; otuggyeko ekivume kyaffe.