Isaiah 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo ettabi ly'Omukama liriba ddungi nga lya kitiibwa, n'ekibala ky'ensi kye kiriba ettendo ly'abo abaliba bawonyeewo mu Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biriba birungi era biriwoomera nnyo abaliba bawonyeewo mu Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ebimera byonna n'emiti, Mukama bye yameza, biriba birungi era byakitiibwa, n'ebibala ebiribala mu nsi biriba birungi era biriwoomera nnyo abo abaliba bawonyeewo mu Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biribawoomera nnyo abo abawonye ku Isiraeri, biriba birungi.