Isaiah 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaliba basigadde mu Siyoni, abaasigala mu Yeruzaalemu, baliyitibwa batuukirivu, bonna abaawandiikibwa mu Yeruzaalemu nti balamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli aliba asigaddewo mu Sayuuni, n'oyo aliba asigaddewo mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, buli muntu aliwandiikiddwa mu balamu mu ab'omu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli aliba asigaddewo mu Siyooni, Katonda gw'aliba alonze okusigala nga mulamu mu Yerusaalemu, aliyitibwa mutukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, oyo asigadde mu Sayuuni n'oyo abeera mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, ye buli muntu awandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi: