Isaiah 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo Omukama alitondawo awo wonna ku lusozi Siyoni, ne ku abo bonna abaliba bakuŋŋaaniddewo, ekire emisana, ate ekiro omukka n'okwakaayakana kw'omuliro ogwaka. Bonna ekitiibwa kiribabikkirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ne ku bantu abakikuŋŋaaniddeko, ekire emisana n'omukka, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga ekitiibwa kya Katonda kiribikka ekibuga kyonna, ne kikikuuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku Lusozi Siyooni, ne ku bonna abakuŋŋaaniddeko, Mukama alireeta ekire n'omukka emisana, n'okutangalijja kw'omuliro ogubuubuuka ekiro. Ekitiibwa kya Katonda kiribikka ekibuga kyonna, ne kikikuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ekire n'omukka emisana, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga waggulu ku kitiibwa kyonna kulibaako ekiritimbibwako.